Numbers 28

Ekiweebwayo Ekya buli Lunaku

1 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2 a“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’ 3 bBagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku. 4Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi; 5 cnga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni. 6 dEkyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama. 7 eEkiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu. 8 fEndiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’ 

Ebiweebwayo eby’oku Ssabbiiti

9 g“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. 10 hKino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

Ekiweebwayo ng’Omwezi Gwakaboneka

11 i“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo. 12 jKu buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; 13 kku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda. 14 lKu buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka. 15 mNg’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.

Embaga ey’Okuyitako

16 n“Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda. 17 oKu lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu. 18 pKu lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana. 19Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 20 qKu buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri; 21ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu. 22 rMunaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza. 23Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya. 24Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako. 25Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.

Embaga ey’Ebibala Ebibereberye

26 s“Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana. 27Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 28Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu; 29 tne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 30Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza. 31 uEbyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”

Numbers 29

Ebiweebwayo eby’Embaga ey’Amakondeere

1 v“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mulimu gwonna ogwa bulijjo ogw’okukakaalukana. Olwo lwe lunaabanga olunaku lwammwe kwe munaafuuyiranga amakondeere. 2 wMunaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. Munaateekateekanga ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 3Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima lita mukaaga n’ekitundu; ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 4ne ku buli emu ku baana b’endiga omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu. 5 xMugattangako n’embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, okwetangiririza. 6 yOkwo kwe munaagattanga ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli mwezi, n’ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa, nga bwe kyalagirwa. Binaabanga ebiweebwayo ebyokebwa nga biweereddwayo eri Mukama Katonda ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa.

Olunaku olw’Ebiweebwayo olw’Okwetangiririra

7 z“Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogwo ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu. Muneerekerezanga ne mutalukolerako mulimu gwonna. 8Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eya sseddume emu, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume ab’omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, byonna nga tebiriiko kamogo ng’ebyo kye kiweebwayo ekyokebwa omuva akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 9 aaKu nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni nga bupima kilo ttaano, ne ku ndiga ennume ento obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu, 10 abne ku buli emu ku baana b’endiga abalume omusanvu obupima kilo emu n’ekitundu. 11 acMugattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga kyongerwa ku kiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza, n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo nga kuliko n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa ebigenderako.

Ebiweebwayo olw’Embaga ey’Ensiisira

12 ad“Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu era temulukolerangako mirimu egya bulijjo. Munaakolanga embaga eri Mukama Katonda okumala ennaku musanvu. 13Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekyokebbwa ku muliro ne muvaamu akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kya nte eza sseddume ento kkumi na ssatu, endiga ennume ento bbiri, abaana b’endiga abalume abaweza omwaka gumu ogw’obukulu kkumi na bana; nga byonna tebiriiko kamogo. 14 aeEra munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni, nga bupima kilo ttaano ku buli emu ku nte ekkumi n’essatu, nga bupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu ku buli emu ku ndiga ento ebbiri ennume; 15ne ku baana b’endiga abalume ekkumi na bana, nga bupima kilo emu n’ekitundu ku buli emu. 16 afEra munaawangayo n’embuzi emu ennume olw’ekiweebwayo olw’ekibi, ng’okwo mugasseeko n’ebiweebwayo ebyokebwa ebya bulijjo n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.

17 ag“Ku lunaku olwokubiri munaateekateekanga ente eza sseddume ento kkumi na bbiri, n’endiga ennume ento bbiri n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abaweza omwaka gumu ogw’obukulu, nga byonna tebiriiko kamogo. 18 ahKu nte eza sseddume, n’endiga ento ennume, n’abaana b’endiga abalume, munaateekateekanga ebiweebwayo byabyo eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako eby’ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 19 aiMunaagattangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi, nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’emmere yaako ey’empeke, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa.

20 aj“Ku lunaku olwokusatu munaateekateekanga ente eza sseddume kkumi n’emu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo. 21 akKu nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo eby’emmere yaako ey’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ebigenderako, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 22Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

23“Ku lunaku olwokuna munaategekanga ente eza sseddume kkumi, n’endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 24Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga, munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 25Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

26“Ku lunaku olwokutaano munaateekateekanga ente eza sseddume mwenda, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana abawezezza omwaka ogumu nga byonna tebiriiko kamogo. 27Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 28Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi nga mwongereza ku kiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

29“Ku lunaku olw’omukaaga munaateekateekanga ente eza sseddume munaana, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 30Ku nte ne ku ndiga ento ennume, n’abaana b’endiga munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo ebyokunywa byako ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 31Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke, n’ekiweebwayo kyako ekyokunywa.

32“Ku lunaku olw’omusanvu munaateekateekanga ente za sseddume musanvu, endiga ento ennume bbiri, n’abaana b’endiga abalume kkumi na bana ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 33Ku nte ne ku ndiga ento ennume, ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa, ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 34Era munaawangayo embuzi emu ennume, nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

35 al“Ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana, era temuukolenga mirimu gya bulijjo egy’okukakaalukana. 36 amMunaawangayo ekiweebwayo ekyokye omuva akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda, nga kye kiweebwayo ekyokye eky’ente eya sseddume emu, n’endiga ennume ento emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu ab’omwaka ogumu ogw’obukulu, ebyo byonna nga tebiriiko kamogo. 37Ku nte ne ku ndiga ento ennume ne ku baana b’endiga, byonna munaabiteekerateekerangako ebiweebwayo byako eby’emmere y’empeke n’ebiweebwayo byako ebyokunywa ng’emiwendo egyalagirwa bwe giri. 38Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, nga mwongerereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo, n’ekiweebwayo kyako eky’emmere y’empeke n’ekiweebwayo ekyokunywa.

39 an“Ebiweebwayo ebyo munaabiwangayo eri Mukama Katonda ku mbaga entongole ezaategekebwa era ezaalagirwa; nga mubyongera ku biweebwayo bye mweyama, n’ebya kyeyagalire, n’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere y’empeke, n’ebiweebwayo ebyokunywa n’ebiweebwayo olw’emirembe.”

40Awo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri buli kimu kyonna nga Mukama Katonda bwe yamulagira Musa.

Copyright information for LugEEEE